
E Gulu abantu 10 baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulya obutwa.
Abali obubi kuliko abaana 3 nga era balumiddwa embuto oluvanyuma lw’okulya kabalagala agambibwa okubeeramu obutwa.
Aberabiddeko n’agaabwe balumiriza nti omukyala atunda paani Kevin Anena mu ka tawuni ka Unyama yandiba nga yakikozesezza ttima okutabula obutwa mu menvu g’akubamu paani.
Omu ku bakulira eddwaliro lye Gulu Mohamed Mubiru ategezezza nga bwebakola ekisoboka okutaasa abalidde obutwa buno.
Atwala poliisi ye Gulu James Asubu akakasizza bino n’ategeeza nga n’omukyala eyakubye kabalagala ono naye bwali mu ddwaliro ataawa olw’obutwa.