Kkampuni eyazimba ekifo ekiwummulirwaamu okumpi ne kkanisa ya watoto eyagala KCCA egisasule obuwumbi musatu n’ekitundu lwakumenya ndagaano.
Kkampuni eno emanyiddwa nga Jevi Media Solutions Ltd egamba nti KCCA yagiwa omulimu mu mwaka 2012 , bano baali balina okufuna ensimbi eziva mu birango ebissibwa ku kifo kino kyokka nga ssi bweguli.
Kkampuni eno egamba nti yadde yamala emirimu, KCCA tegikkiriza kufuna nsimbi ziva mu birango kati emyaka esatu
Omuwandiiisi wa kkooti awadde KCCA ennaku 15 okwewozaako.
Yyo KCC eyodde taxi
Taxi ezisoba mu 100 zeeziboyeddwa lwa ba nyinizo butasasula za mwezi.
Taxi zino ezimu zisimbiddwa ku kitebe kya KCCA ng’asasula y’ajjawo eyiye
Zino ziboyeddwa mu kikwekweto ekitandise ku ssaawa nga nnya ez’oku manya eri abo bonna abatannaba kusasula.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agambye nti basinze kukwata Taxi ezimaze omwezi ogusukka mu gumu nga tezisasuddwa