
Eby’entambula byakutataganamu ku nguudo paapa n’abagenyi abayite gyabanayita.
Kino kibikuddwa akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr Steven Kasiima bw’abadde ayogerako nebannamawulire
Kasiima agambye oluguudo lw’ Entebbe Paapa gy’agenda okuyita lwakuggalwa okuva ku ssaawa 10 okutuukira ddala ku ssaawa 4 ez’ekiro paapa atambule bulungi.
Ne ku ssande oluguudo lwelumu lwakuggalwa okuva ku ssaawa 1 ey’akawungeezi okutuusiza ddala ku ssaawa 4 ez’ekiro
Ono alabudde bonna abagoba b’ebidduka okugondera amateeka gokunguudo bwebaba basobola bakozese amakubo amalala.
Mu ngeri yeemu Kasiima awadda amasomero gonna ku luguudo lw’ Entebbe amagezi gawummule olunaku olw’enkya kubanga olwokutaano lwandiba oluzibu.
Kasiima agamba abatawumule lunaku lwankya balina kulinda mande nga Paapa asiibudde.