
Entiisa ebutikidde abasaabaze ababadde bava e Jinja okudda e Kampala bwe bakizudde nti munabwe mu mmotoka abadde yafudde dda.
Omugenzi ategerekese nga Joseph Ssegendo atemera mu myaka 25 omutuuze ku biziga bye Ddolwe.
Akulira okunonyerezza ku misango ku poliisi e Mukono Henery Ayebare ategezezza nti okuzuula omugezi nti affudde, kodakita amaze kutuuka mu katawuni ke Wantoni omugenzi wabadde aviiramu nebamuzukusa asasule ssente nga tayanukula okumukwatako nga mukalu wajjo.
Omugenzi abadde mu taxi namba UAW848/W ebadde eyolekera e Kampala. kigambibwa omugenzi abadde alina ekilwadde ekimubala embirizi nga banne ku kizinga bebabadde bamusindise okudda ewa Nyina ku kyalo Namubiru afunne obujjanjjabi wabula nga tatuuse.
Ayebera ategezezza nga bwebatandise okunonyerezza okuzuula ekitufu ekisse omuvubuka ono ku fayiro namba SD82/24/11/2015. Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Kawolo okwekebeJJebwa.