
Ekitongole kyebyebigezo mu gwanga kyakuyita abaana ebigezo byabwe ebyakwatiddwa, abakulu bamasomero wamu nabasomesa okubaako byebaddamu ku bigamabibwa nti bakoppa ebigezo.
Abalala abetagibwa eri akakiiko akanonyereza ku bigezo ebyakwatiddwa bebaakuuma ebigezo bino mu masomero.
Omwogezi wekitongole kyebigezo Hamis Kaheru atutegezezza nti okunonyerza kutandise, nga buli Muntu wakuweebwa ekyanaya okwennyonnyolako.
Ebigezo byabaana 279 okuva mu masomero 15 okwetoloola egwanga byebyakwatiddwa olwokukoppa nokuyambibwako.
Wabula mu ngeri yeemu bbo abayise bakyajaganya.
Kati twogeddeko ne Hilda Nekesa okuva ku Mpooma girls’ school eyayise nobubonero16 kyokka nga yayingira siniya ey’okutaano n’obubonero 45