Bya Ritah Kemigisa.
Ssabapolisi we gwanga Martins Okoth akakasizza bannayugada nga egwanga bweriri mu mirembe egitagambika, newankubadde wabadewo abagamba nti Uganda eri mukatyabaga.
Kinajukirwa nti wabadewo ebigambo ebisasanyizibwa ku mitimbagano egy’empuliziganya , nga biraga nga banna- uganda bwebalina okwetegerekera embeera embi egenda okulumba uganda.
Wabula bwabadde ayogerako ne banamawulire, ssabapolisi yagambye nti bino ebyogerwa byakumala budde, polisi ekola kyonna ekisoboka okulaba nga bannayuganda babeera mu mirembe era nga kino kitandise okutuukirira.
Ono agamba nti abantu bagwana bakome okutiitira police weeri okubakuuma.