Bya Kirunda Abubaker.
E iganga waliwo omusajja wa myaka 42 akaligiddwa emyaka 35 lwabutemu.
Akaligiddwa ye Godfrey Kakaire omutuuze we Bwondha mu gombolola ye Malongo, nga guno omisango yaguzza mu mwaka gwa 2013.
Ono akaligiddwa mu kooti enkulu ebadde ekubiriziibwa omulamuzi Justice Micheal Erubu , nga ono agambye nti mukutta omuntu ono yayambibwako Sula Kilume olwo nebatta Rashid Magoola eyali ssentebe we Bulidi mugombolola ye Malongo.
Kati wano omulamuzi wasinzidde naggalira Kakaire emyaka 35, songa ye Kilume amusibye emyaka 33