
Waliwo ebibinja by’abavuba ebyenjawulo ebyesamudde enteekateeka z’okwekalakaasa wano mu Kibuga Kmapala mu kuwakanya ebyava mu kulonda okwakaggwa.
Abavubuka bano abasoba mu 700 nga begatira mu kibiina kyabwe ekya Mwoyo gwa Uganda ogutafa, Zaabike Emipiira ne black Mamba wamu nebamalaaya bagamba nti waliwo bannabayabufuzi ababadde babasendasenda okwetaba mu bikolwa bino.
Abavubuka bano bagamba tebaagala kiyiwa musaayi kale nga ssibetegefu kwetaba mu bikolwa bino eby’okutabangula eggwanga.