Skip to content Skip to footer

Aba banka enkulu bagyeyo ebimu ku biwandiiko

Bya Kyeyune Moses

Abakulu mu bnaka ya Uganda enkulu bagyeyo, ebiwandiiko ebimu ku bybaali bawaddeyo eri akakiiko ka palamenti akalondoola emirmu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE.

Okusalawo kwabano okujjayo ebiwandiiko bino kulangiriddwa ssnetbbe wakakiiko Abdu  Katuntu akakiiko bwekabadde kakaktuula amakya ga leero.

Kitegezeddwa nti bano baliko enkyukakyuka zebagoke mu kwewozaako kwabwe eri ababaka.

Governor wa banka enkulu Prof Emmanuel Mutebile agambye nti kino kikoleddwa, okusobola okwanukula obulungi ku kwemulugunya kwa alipoota ya Ssababalirizi webitabo bya gavumenti.

Akakiiko kano kagenda mu maaso nokunonyererza kungeri banka ezebyobusubuzi 7 gyezagalwamu, nga kigambibwa nti emitendera namateeka tebyegobererwa.

Mungeri yeemu bano era baleese alaipoota ekwata ku TEEFE trust Bank limited, embeera gyeyalimu mu kujiggala.

Bnaka yaggwala mu 1993,wabulanga abakaulu mu banka enkulu basangula bwezikala, bwebaali balabiseeko mu kakaiiko bwebalemererwa okwanja alaipoota.

 

Leave a comment

0.0/5