Bya Ivan Ssenabulya
Polojekiti zabavubuka okwekulakulanya e Buikwe gavumenti mweyabawera ensimbi, zagotaana olwamagye ku Nyanja agagobaganya abantu ku myalo.
Ssempeebwa Paul akulira abavubuka ku lukiiko lwa district agamba nti okuva mu 2014/15, tewali bavubuka baganyuddwa mu ssente ezibaweebwa.
Ono abadde mu lukung’aana lw’abakulembeze mu Greater Mukono olubadde e Mukono olwokwongera amanyi mu ntekateeka ya YLP.
Wabula omumyuka wa Ssentebe w’abavubuka mu gwanga Flex Ssafaali asabubizza nti abavubuka ku Nyanja, bagenda kutandika okulwowozebwako mungeri eyenjawulo.