Skip to content Skip to footer

Aba China 3 bakwatiddwa

Poliisi ye Masaka eriko banansi ba china 3 b’ekutte lwakutandika bibanda bya zaala mu kitundu kino nga tebalina layisensi.

Bano bakwatiddwa okuva ku wooteri ya Maria Flo mwebabadde basula, era nga bakwatiddwa ku biragiro bya RDC we Masaka Lenos Ngopek.

Ngopek agambye nti bano babadde banyaga ensimbi okuva mu bantu, ekireseewo okwemulugunya.

Ye Omwogezi wa poliisi e Masaka Noah Sserunjogi agambye nti bagenda kukolagana n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira eggwanga okulaba nga bano baddizibwayo gyebaava.

Leave a comment

0.0/5