Bya Ritah Kemigisa.
Wano e Bukesa – Nakulabye agavaayo galaga nga ekitongole ekiketera amaggye ge gwanga ekya CMI nate kizeemu okulumba office zaba bodaboda 2010 e nadala ezosangibwa wano e Bukesa, era nebakwata abantu abawerako.
Kinajukirwa nti kino ekiwendo ky’atandikidde wakaliga era akulira ekibiina kino Abdul Kitata n’akwatibwa, songa neggulo amagye era gaalumbye wano e kabowa negakwata abantu abasoba mu 30, ko n’okuzuula emotoka egambibwa okuba ey’omusajja Francis Ekalunger nga ono yattibwa mu Bukambwe.
Agavaayo galaga nga Amagye bwegalumbye office eno negakanyaga buli kantu ebweru, negamala negabiteekera omuliro.
Okunonyereza ku nsonga zabano kugenda mu maaso.