Bya Magembe ssabbiiti
Taata abadde atambula n’omwana we ow’omwaka ogumu n’ekitundu nga bagenda ku duuka okubako kyebagula batomeddwa ebatiddewo.
Motoka ekoze akabenje kano yakika kya Premio namba UAW 643B nga era ebadde edda Fortportal era omugoba waayo tayimiriddemu.
Abagenzi ye Maliyusi Kakunda owemyaka 38 ne mutabani we JoshuaTwinemujuni ow’omwaka ogumu n’ekitundu .
Abatuuze batabukidde poliisi nebategeeza nga bwebazzenga balabula poliisi okuteeka obufunvu ku luguudo luno nga buteerere.
Kansala akikirira ekitundu kino mu lukiiko lwa municipality Kabogere Benoni ategezeezza nga bwebakola alipoota ku bubenje obuzze bugwa mu kitundu kino okuva mwaka gwa 2001 ne
bagikwasa poliisi nga kati abantu abasoba mu 90 bebakafiira mu kabuga kano wabula nga nejebuli eno Poliisi wamu ne UNRA kwosa abakulembeze berema okuteeka Hamps mu kifo kino
.
Emirambo poliisi egijewo negitwalibwa mu ddwaliro ekkulu eMubende okwokebejebwa nga n’okunonyereza bwekugenda maas