Bya Malik Fahad
E Kyotera mu disitulikiti ye Rakai omusajja yewadde obutwa n’afa nga alumiriza mukaziwe okubeera omwenzi.
Omugenzi ategerekese nga Roger Mawejje 32 omutuuze ku kyalo Kasambya.
Okunonyereza okusoose kulaze nga ono bweyasoose okuyomba ne mukyalawe gwalumiriza obwenzi oluvanyuma neyetta
Atwala poliisi ye Kyotera Patience Baganzi agamba baayombye ne mukaziwe namukuba bubi nyo omukazi naloopa ku poliisi namuggulako omusango gw’okumulumya nga kiteberezebwa okuba nti kino kyandiba nga kyekyatiisizza omugenzi neyetta.
Abapoliisi ababadde bagenze mu makage okumukwata bebaagudde ku mulambo.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro okwengera okwekebejebwa.