Bya Damalie Mukhaye ne Juliet Nalwoga
Aboludda oluvuganya gavaumenti mu kibiina kya FDC batanudde okubanja nti omubaka wa Uganda mu Burundi Maj Gen Matayo Kyaligoza, alekulire mbagirawo.
Kyalogoza ngalaia wamu nabakuumi be, abajaasi ba UPDF kigambibwa nti bakakanye ku musirikale wa poliisi yebidduka wali e Seta-Mukono, nebamupaca empi, olwokubagaana okuvugira awakyamu.
Kati mu lukungaana lwabanamwulire olutudde ku itebbe kyekibiina e Najjakumbi, omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemuju Nganda, agambye nti waliwo obunanafuusi, nga katai abakulu mu gavumenti bafuuse ba kyetwala, tebakwatwako.
Bano bagala nti alekulire oba bakama be bamuwumuze.
Wabula omwogeziz wamagye ge gwanga Breg Richard Karemire, olunnaku lwe ggulo yategezezza nga bwebatandise okunonyereza.
Ate poliisi etenderezza omusirikale ono alai ku ddala lya seagent, Easter Namaganda olwokukola emirmu gye nobukugu, watali kutiririra muntu yenna.
bwabadde ayogera ne banamawulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi Fred Enanga avumiridde ebyabaddewo.
Kati agambye nti batonzeewo obukiiko 2 okulondoola ensonga eno.