Bya Damali Mukhaye
Nga ebbeeyi ya sukaali yeyongera okwekanama buli lukya, ab’ekibiina kya FDC basabye gavumenti ekkirize sukaali ataliiko musolo ayingizibwe mu ggwanga okusobolaokutaasa bannayuganda ababadde bavudde ku ka caayi.
Kilo ya sukaali kati egula 7000 awamu nga minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde y’ategezezza nga ekyeya bwekyavaako ebbula ly’ebikajjo.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, amyuka omwogezi wa FDC Paul Mwiru ategezezza nga abasuubuzi abamu abomulugube bwebakozesezza akakisa kano okukweka sukaali olwo nebamuseera kale nga singa sukaali ava ebweru nga tekuli musolo ayingira eggwanga, bino byonna byakuggwawo.
Mungeri yeemu Mwiru agamba gavumenti mukiseera kino yandiweze abatunda sukaali ebweru w’eggwanga mu kiseera kino nga waliwo ebbula bannayuganda basobole okufuna ku buweerero.