Bya Ben Jumbe
Omubaka w’essaza lye Kibaale mu disitulikiti ye Kamwenge Cuthbert Abigaba avumiridde engeri meeya we Kamwenge Geoffrey Byamukama gyebapakudde mu ddwaliro lye Nakasero okumuzza mu kkomera lye Nalufenya mu disitulikiti ye Jinja nga akyalina ebiwundu.
Okusinzinziira ku mukyalawe Viola Kyomugisha, Byamukama y’ajiddwa mu ddwaliro lye Nakasero ku lwomukaaga nebamuzza eNalufenya poliisi nga egamba eyagala kumutaasa ku bannamawulire ababadde bewuubayo.
Byamukama yakwatibwa gyebuvuddeko ku byekuusa ku kutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi n’atwalbwa mu ddwaliro nga alina ebiwundu ebigambibwa okuba nti yabifuna oluvanyuma lw’okutulugunyiaibwa.
Kati omubaka Abigaba agamba ssikyamubuntu mulwadde kuzunzibwa nga akyali mu bulumi bwebutyo.