Bya Abubaker Kirunda
Abantu 10 bakakasiddwa okuba nga bafiridde mu kabenje akagudde ku Kabuga ke Magamaga kuluguudo oluva e Jinja okudda e Iganga, mu district ye Mayuge.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi agambye nti akabenje kano ketabiddwamu mmotoka kika kya Costa namba UAP672/Q ebadde eva e Mbale ngetomereganye ne Costa endala, ebadde yetisse abalokole ababadde bava okusaba ewomusumba Kakande.
Mubi agambye nti abantu 9 bebafairiddewo mbulaga atenga owe 10 afiridde mu ddwaliro lye Nakavule e Iganga, gyabadde addusiddwa.
Abagenzi kubaddeko abakazi 5, abasajja 2 nabaana abatto 3, nga bonna babadde batuuze mu district ye Iganga.