Presidenti wekibiina kya FDC Patrick Amuriat akubye ebituli mu kukuzibwa, kwabanamagye okwakoleddwa omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni, ku nkomerero ya wiiki ewedde.
Ono asinzidde mu ttabameruka wabakulembeze owa NEC, agenda mu maaso ku kitebbe kyekibiina e Najjanakumbi, nagamba nti mwabaddemu kyekubiira aagambika nokuboola mu mawanga.
President Museveni yakuzizza mutabani we Muhoozi Kainerugaba, okuva ku daala erya Maj Gen okudda ku ddala erya Lt Gen, nabajaasi abalala.
Kati Amuriat, agambye nti ekyakoleddwa kityobola ssemateeka, atekawo obwerufu nobutekubiira mu kukuza banamagye.Sound:
Wabula omwogezi wamagye ge gwanga Breg Richard Kalemire, agambye nti, kino ssi kituufu kubanga tebakiriza byabufuzi, busosoze mu mawanga nebiralala ebyokubooma mu magye.