Bya Ndaye Moses ne Ivan Ssenabulya
Ssabapolisii we gwanga Martin Okoth Ochola avumiridde enguzi, efumbekedde mu kitongole kyakulembera.
Kati alabudde abasirikale be bakomye okwenyigira mu bulyake kubanga kyekivaako, poliisi okukulemberanga mu alipoota ezokulya enguzi, era nekitatana erinnya lyekitongole.
Ochola agambye nti alumye nogwe ngulu, okulwanyisa enguzi, nga talina musirikale yenna gwagenda kuttira ku liiso.
Bino Ssabapoliisi we gwanga, abyoegeredde mu kuggulawo olusirika lwabasirikale ba poliisi, olugenda okukulungula enzingu 4 ku ttendekero lya poliisi e Bwebajja.
Ate poliisi ereese technology gwebagenda okuyitamu okulwanyisa obumenyi bwamateeka. |
Techonolgy ono poliisi egamba nti wakweyambisibwa okwekenneya face zabantu, nebinkumu naddala abo bebatereeza okumenya amateeka. omuwandiisi mu poliisi ya Uganda Muhirwa Rogers agambye nti balina esuubi nti, kino kigenda kubongera amaanyi ate nokutuusanga obwenkanya eri abakoseddwa, mu bumenyi bwamteeka obwenjayuwulo. |