Ettaka lya UBC eyagulibwa omubaka we Burahya Margaret Muhanga kizuliddwa nti likyaliko ebibuuzo bingi.
Omu ku babaka ba palamenti Moses Kasibante nga atuula ku kakiiko akalondoola eby’ettaka lino agamba ekyapa Muhanga kyeyaleese kiraga nga yiika 23 zonna bwezatundibbwa sso nga mu butuufu 18 zokka zezatundibwa.
Kasibante agamba abantu abalala bangi bakuzulibwa nti ddala bafuna ettaka mu bukyamu.
Kati akakiiko kano kayise aba UBC bewozeeko ku ngeri ettaka lyayo gyelyagulibwamu abantu 3 nga balina n’ebyapa byalyo.
