Skip to content Skip to footer

Kayihura bamulinze mu kkooti

kaleSsabapoliisi w’eggwanga  Gen. Kale Kayihura neba ofiisa be abalala 7 olwaleero basuubirwa mu kkooti ye Makindye okwewozaako ku musango gw’okutulugunya ogwabaggulwako.

 

Gen.Kayihura yetaagibwa mu kkooti ne ba ofiisa okuli James Ruhweza, Wesley Nganizi, Andrew Kaggwa , Geoffrey Kahebwa n’abalala.

 

Omulamuzi Juliet Nakitende nga  25th /July 2016 yayita bano babitebye opluvanyuma lw’bavubuka basatu okuli Andrew Ssebitozi, Rogers Ddiba ne Joseph Kaddu abaawaba kkooti evunaane ssabapoliisi w’eggwanga nga omuntu wamu nebasajja be olwokutyoboola eddembe ly’obuntu.

 

Abasatu bano balumiriza Kayihura okulagira abaserikale be okubakuba wamu n’okwonona ebintu byabwe nga pikipiki.

 

Abamu ku baserikale bano bazze bawumuzibwa nga era akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa kakyabanonyerezaako.

 

Leave a comment

0.0/5