Bya Samuel Ssebuliba.
Abakulembeze ba FDC mu district ye Ngora batabukidde Police nga bagamba nti eno etandise okwetaba by’obufuzi.
Twogedeko n’akulira FDC e Ngora Sarah Eperu, naagamb nti police nga ekolera ku biragiro bya RDC Ambrose Onoria batandise okubuna district nga bagenda bakwata abavubuka abalina T- shirt okuli ebigambo ebya Museveni must Go.
Ono agamba nti nga bwekiri ku kaweefube wa Bazukulu ba Museveni, nabo baatongoza eya Museveni must go kyoka kati police ebatabulidde
Wabula bwetwogedeko n’adumira Police mu kitundu kino Nathan Male agambye nti kituufu T-shirts zino bazinoonya, kubanga ebigambo ebiwandiikidwako biyinza okukuma omuliro mu bantu okukakana nga balwaye.