Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku bannamawulire okukuza olunaku lw’eddembe lyabwe olubeerawo buli mwaka nga 3 May.
Emikolo gy’omwaka guno gibadde mu kibangirizi kya Railway wano mu Kampala, nga gyategekeddwa ekibiina ky’amawanga amagatte nga kiri wamu n’ebibiina ekitwala bannamawulire mu Uganda ekya Uganda Journalists Association.
Minisita w’amawulire mu bwakabaka Owek. Noah Kiyimba, yakikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo guno.
Mu bubaka bwamutisse Katikkiro agambye kyandibadde kirungi abakuuma ddembe okukomya omuze gw’okukuba ab’amawulire kubanga babeera bakola mirimu gyabwe ate n’ebyuma nga bisaanye okukumibwa.
Owek. Kiyimba agasseeko nti olunaku luno lusaana luyambeko mu kumanyisa obuvunaanyizibwa n’omulimu gwa bannamawulire gutekebwemu ekitiibwa.