Skip to content Skip to footer

Ssabasajja akyusizza mu kitongole kye ttaka

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja Kabaka asiimye nalonda abakiise abaggya ku Bboodi yekitongole ekiddukanya emirimu gyobwakabak egyettaka ekya Buganda land board.

Abalondedwa kuliko owek. Martin Sseremba Kasekende nga ssentebe nga waakumyukibwa Owek. Apollo Nelson Makubuya.

Abakiise abalala kuliiko omukungu John Kitenda, owek Robert Kiggundu, Owek. Muhamood Thobani nabalala.

Kati kitegzeddwa nti oluvanyuma lw’okulondebwa, bagenda kutandikirawo emirmu.

Ssabasajja asiimye nnyo abakiise bonna abawumudde olw’obuwereza bwabwe ku bboodi eno.

Ssabasajja Kabaka ayagala Bboodi empya ezimbire kwebyo ebituukiddwako mu biseera bya bboodi ewummuddde.

Leave a comment

0.0/5