Poliisi ye Matugga mu district ye wakiso abantu 3 kubigambibwa nti babye ensawo za seminti 46 okuva ku Muzikiti gwa Masgid Juma e Migadde.
Abakwatidwa kuliko Nuru Najjuma owemyaka 42 nga mutuuze we Kazo Angola , Muhammed Sserunjogi ne Steven Kalinda omugoba wa mmotooka ku siteegi e Kigoogwa. .
Kigambibwa nti olukwe lwakoledwa Lubega omu ku bakozi ababadde bazimba ku Muzikiti guno nga yasoose kulimbalimba omukuumi wa sitoowa yOmuzikiti nti bagendeko mu firimu era eyo gyeyamuduseeko nadda ku sitoowa ne batikka seminti ne bamutwala e Kazo mu Angola mu Munisipaali ye Kawempe.
Muhammed Nnondo ssentebe w’Omuzikiti guno ategeezezza nti Lubega abadde mukozi waabwe ng’asomba mazzi mu kuzimba wabula era nga yeeyita Meddie Lubega.
Kati ebaguddeko omusango gwo nga guli ku fayiro nnamba 15/17/04/2017.