Omusajja atemera mugyobukulu 23 anyiga biwundu oluvanyuma lwa mukyala we okumufumita ekiso kumutwe nga balwanira ensimbi.
Robert Serugo myaka 23 nga mutuuze mu zooni ye Lubya e Namugoona nga emirimu gye agyikolera mu kibuga Kampala e Nakivubo agamba nti mukyala we Esther Serugo yatabuse oluvannyuma lw’okumusaba ssente n’agaana.
Era ekyazeeko kwekusulawo omwana wabwe owemyezi 2 nayambala nti agenze waabwe wabula yagenze okulaba ng’akomyewo n’addamu okumusaba ssente ng’ekyaddiridde kwe kukweka akasawo mwazitereka era bwe yakamusabye yagyeyo ekiso namufumita omutwe nga kati ali mu ddwaliro e Mulago anyiga biwundu .
Ye Omukazi ola’amaze okufumita bba n’abulawo nga era omusango guli ku poliisi ye ye Namugoona eyabakanye dda nokunonya omukyala ono.
Sserugo alindiridde biva mu kyuma kya Scan okulaba oba omutwe tegwakoseddwa.