Bya Amos Ngomwoya.
Minister akola ku nsonga za Kampala omukyala Betty Kamya ategeezeza nga KCCA bwereese amateeka amappya agagenda okugobererwa mukukulakulanya ekibuga Kampala.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, Minister Betty kamya agambye nti situgaanye baali banokodeyo ebizimbe 537 eby’okumenya nga ensonga yakuzimbibwa bubi, kisalidwawo eno ensonga eddemu yetegerezebwe.
Kati ono agambye nti eno ensonga bagikutte mungeri ya mirundi nga esatu nga kuno kwekuli ebizimbe eby’azimbibwa mungeri emenya amaateeka, ebizimbe ebikadde,ko nebitaafuna bisanyizo bya KCCA mukuzimbibwa.
Ono agambye nti ebizimbe ebyazimbibwa nga tebirina bisanyizo atenga bikadiye byakumenyebwa, ebyazimbibwa nga tebigoberedde lukusa lwa K.C.C.A kyoka nga bikyali bulungi byo byakuwa ngasi, songa ebyazimbimbwa mu luguudo birina okweseetula.
Ono agambye nti KCCA egenda kuddamu yetegereze ensonga zonna ,olukalala olupya lufulume.
Wabula ono agambye nti ebizimbe byonna ebisituka nga tebiriina lukusa lwa KCCA birina okumenyebwa okutandika na leero