Abakozi ba MTNmukaaga abasingisiddwa omusango gw’okunyaga obuwumbi 3 basibiddwa emyaka mwenda
Ekibonerezo kibasaliddwa omulamuzi Paul Mugamba.
Omulamuzi era alagidde poliisi okuzza obukadde 800 zeyasanga n’abakozi bano
Omulamuzi wabula agambye nti bano ssi bakuliwa kubanga bakizudde nti babadde betowaze kyokka nga balina okubonerezebwa
Ono agambye nti bakizudde nti MTN ezze enunula ssente zino kale ezisinga bazifunye
Abasibiddwa kuliko Iren Kauma, Peter Ayebare, Joseph Magombe, Daniel Segujja, Edris Serunkuma ne Edgar Matovu.