Skip to content Skip to footer

Aba NRM boolekedde Kyankwanzi

NRM CEC members arrive

Bannakibiina kya NRM boolekedde Kyankwanzi awali olusirika lwaabwe olutandika olunaku lw’enkya

Bano bagenda kusinziira mu lusirika luno okwongera okuttaanya ensonga y’okuyisaawo omuntu omu nga tavuganyiziddwa mu kulonda kwa 2016

Bano bakumala ennaku 7 e Kyankwanzi .

Bino nno nga biri biti, bannabyabufuzi abavuganya gavumenti bavumiridde ekikolwa ky’abakulembeze mu kibiina kya NRM okuyita olukiiko lwaabwe nga bakimanyi nti palamenti yakaddamu.

Akulira oludda oluvuganya gavumenti  mu palamenti Wafula Oguttu agambye NRM ebadde ekimanyi nti y’esinga ababaka mu palamenti kale nga yandibadde tetuula mu kaseera nga bakaddamu okutuula

Bano agambye nti ekikolwa kyaabwe kya bannakigwanyizi.

Leave a comment

0.0/5