Skip to content Skip to footer

Aba NUP e Mubende balagyanye kubayuza ebipande byabwe

 

Bya Magembe Ssabiiti,

Ab’ekibiina kya National Unity Platform mu disitulikiti y’e Mubende basabye abakulira eby’okulonda e Mubende baveeyo babataase ku bayuza ebifaananyi byabwe n’okukuba abawagizi babwe.

Leero webukeeredde nga ebifaananyi by’omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanye Ssentamu nabakwatidde ekibiina bendera biyuziddwa ku nguudo ezimu mu kibuga Mubende ekiresewo okutya eli abakulembeze nabawagizi bekibiina kino.

Avuganya ku kifo ky’omubaka wa Mubende municipality  Kyamanywa Bob Richards atubuulidde nti bino webibeereddewo nga bannaabwe abava mu NRM bali mukwaniriza president Museveni mukitundu kino.

Omwogezi wa NRM e Mubende Ssemango Stephen Kasozi bano abaanukudde nategeeza nga NRM bwetayina kakwate kona mukuyuza ebifananyi bino kuba nebya president Museveni byayuziddwa.

Leave a comment

0.0/5