Bya Moses Ndaye,
Abalwanirizi be ddembe lyobuntu basabye palamenti okubaga etteeka erikaka gavt okuba buli abateberezebwa okuba abazzi be misango munnateeka anabawolereza ku bwerere mu kkooti awatali kutunulira musango gumuvunanwa
Etteeka eririwo mu kaseera kano liragira abantu bokka abali ku misango eminene omuli obuttemu nóbuliisa maanyi okuweebwa bannamateeka
Bwabadde atongoza alipoota etumiddwa leka abantu bange bagende, senkulu wekibiina ki foundation for human rights Initiative Dr. Livingstone Ssewanyana agambye nti abasibe ku misango gyonna balina okuweebwa omukisa okufuna bannamateeka ku bwerere
Alipoota efulumiziddwa eraze nti abantu 72.5% abakwatibwa mu biseera ebyomuggalo ogwa covid-19 basusa essaawa 48 mu buddukulu lwabutaba nabannamateeka