Skip to content Skip to footer

Abaagula Shimoni bayitiddwa mu palamenti

File Photo : Palamenti ya Uganda
File Photo : Palamenti ya Uganda

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka lya masomero mu kibuga Kampala kayise bukubirire bannyini wooteri ezimbibwa awaali essomero kya Shimoni

Akulira akakiiko kano Robert Migadde Ndugwa agamba nti wooteri eno emanyiddwa nga Kingdom Hotel ey’omulangira we Saudi  Alwaleed Bin Talal abagiddukanya balina okunyonyola engeri gyebaafunamu ettaka lino

Ndugwa agamba nti batandise okunonyereza ku ngeri ettaka lino gyeryagabwaamu, okulikulakulanya wekutuuse n’ebirala ebikwata ku balitwala

Mu gw’omukaaga gw’omwaka 2016, kkampuni ya Kingdom Hotel yassa emikono ku ndagaano ebawa liisi ya myaka 99 nga basaasula obukadde bwa doola 60

Mu ndagaano eno, aba Kingdom Hotel bakkiriziganya ne gavumenti okuzimba wooteri ya bisenge 250 kyokka ng’eno nakati teggwanga.

Leave a comment

0.0/5