Bya Samuel ssebuliba
Akakiiko ka parliament akakola ku government ez’ebitundu katabukidde district n’ebibuga by’ebagamba nti byalemwa okufuna ba contractor abasobola okukola emirimo gy’okuzimba enguudo, okukakana nga ensimbi za government zifudde.
Twogedeko ne ssentebe w’akakiiko kano Regan Okumu nagamba nti district ezaalina okuganyulwa mu program ya World Bank ey’okuzimba enguudo kubukadde bwa dollar 150 ensimbi baazidibaga n’emirimo negigaana okuggwa.
Ono agamba nti kino baakirabye bwebakyadeeko e Hoima ne Fort portal nebasanga nga enguudo n’emyaka ebyalina okuzimbibwa mpaawo kyakolebwa, kubanga bano baasalawo okufuna ba contractor abanafu, okukakana nga ensimbi zifudde togge.
Kati bano bagenda kukangavvulwa.