Bya Ivan Ssenabulya
Police mu district ye Mbarara emaze neyimbula abavubuka 3 abakwatibwa nga bagezaako okwekalakaasa nekifananyi kyomulambo gwomukulembeze we gwanga, nga bawakanya ekyokujjawo ekkomo ku myaka gyomukulmbeze we gwanga.
Bano ekitongole kya gavumenti ekiwaabi kyawabudde baggulweko omusango gwokujemera gavumenti.
Muhumuza Max owemyaka 47, Rogers Asiimwe owemyaka 26 ne Albert Nangumya 20 ngono munnamawulire ku radio emu e Mbarara bawereddwa okweyimirirwa kwa poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwizi, Sam Kasasira akakaksizza okuyimbulwa kwabavubuka bano.
Bano bakwatibwa ngennaku zomwezi 6 omweziguno, e Kizungu Nyamityobora mu munispaali eye Mbarara bwebaali bakaala kaala ne ssanduuko nga bategeka okwekalakaasa nebifananyi byomukulembeze we gwanga.