Bya Magembe Ssabiiti
Poliisi e Mubende eliko omukazi gwekute lwakulagajalira mwana we namusibira mu nyumba nalekamu akataala ka munaku tadooba nagenda ewamuliranwa okunyumya ekivirideko omuliro okukwata enyumba omwana ono nafiramu.
Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Lwabusaana mu gombolola ye Kiganda e Mubende mu kiro ekikesezza olwaleero.
Abatuuze balumirizza maama w’omwana ono Kyalimpa Juliet obulagajjavvu bweyagalidde omwana Namuyige Florence ow’omwaka ogumu.
Abakulembeze ku kyalo nga bakulembedwamu ssentebe wekitundu Olibokiriho Jacob bategezeezza ngabakyala bwebayingira amatumbi budde nga bali mu ngambo ekivirideko n’obumenyi bwa mateeka okweyongera.