Skip to content Skip to footer

Abaamenya essomero lye Kasubi bakyabuze

Bya Moses Kyeyune

Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza bakunyizza abakungu okuva mu KCCA olw’okulemererwa okunonyereza  okumanya eyali emabega w’okumenya essomero lya Kasubi Family Primary School.

Nga 24th May 2016 essomero lino lyamenyebwa mungeri etaategerekeka bulungi olwo abayizi abasoba mu 600 nebasigala nga tebalina wakusomera.

Nga bakulembeddwamu akunganya omusolo mu KCCA Samuel Serunkuma,bano baababuuzizza wa okunonyereza wekutuuse oluvanyuma lw’okutandika omwaka oguwedde.

Omubaka akiikirira Rubaga North  Moses Kasibante nga essomero lino lisangibwa mu kitundu kye banao yabakunyizza oba ddala essomero lino lirina n’ekyapa.

 

Wabula akulira ebyenjigiriza mu KCCA David Esuku  y’ategezezza nga bwebakyalinda poliisi ekomekereze okunonyereza kwayo.

Leave a comment

0.0/5