Skip to content Skip to footer

Poliisi ekyalemedde abaana b’abakwate

Bya Ben jumbe

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu batadde poliisi ku ninga eyimbule mangu abaana b’omu ku baakwatibwa  ku kutibwa Andrew Felix Kaweesi.

Kino kiddiridde poliisi okugaana okubayimbula olunaku lweggulo okuva ku poliisi ye naggalama  olwo bamaama baabwe abaabadde bagenze okubagyayo nebasigala nga bakonkomaliridde.

 

Kati munnamateeka alwanirira eddembe ly’obuntu Nicholas Opio agamba kikyamu okukwata abaana bano bayimbulwe baweebwe obukuumi bwekiba kyetagisa.

 

Wabula omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emillian Kayima agamba abaana bano baabatwala kubawa bukuumi.

 

Leave a comment

0.0/5