Skip to content Skip to footer

Eyalimba ku bya Kaweesi bamusibye

Bya Ruth Andera

Kkooti ya City Hall  eriko omukazi ow’emyaka 18 gw’ebasibye omwaka ggumu n’ekitundu lwakuwa poliisi bujulizi bukyamu ku kutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.

Shiellah Nalubega nga mutuuze we  Bukomasimbi mu disitulikiti ye Masaka akkirizza omusango guno mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende nti nga 29th/April 2017  wali e  Kyaliwajjala yu’alimba omuserikale a poliisi ASP Sophy Neboshi nti abatta Kaweesi y’ali abamanyi.

Nalubenga  ategezezza kkooti nti yalimba kubanga yali ayagala okwefunira ku kirabo kya ssente poliisi kyeyali etaddewo eri oyo yenna anagiwa amawulire aganagiyamba okukwata abatta musajja waabwe.

Omulamuzi Nabende ategezezza nti abantu nga bano bagwana ekibonerezo ekikakali kubanga ono yayonoona obudde wamu ne nsimbi y’omuwi w’omusolo mu kunonyereza okusinziira ku bulimba bweyawa.

Leave a comment

0.0/5