Bya Ritah Kemigisa.
Police wano mu Kampala eriko abaana babiri beenunudde, nga bano babadde bawambiddwa era nga abawambi babade basabye ensimbi obukadde busatu.
Ttaata w’abaana bano Hajji Musa Muliika agamba nti abaana bano baabuze lunaku lwagulo era naawaba ku police ye Bweyogerere , nga ayagala emuyambeko okuzuula abaana bano okuli Mulika Rahma ne Mulika Diin Tajudiin , nga bano baggidwa mu maka gaabwe e Kigandazi Zone
Abaana bano bagamba nti ababawambye babalimbye nti bagenda kubagulira keeki, oluvanyuma nebateeka mu motoka nebabatwala
Mike Mugabe nga ono y’akulira police ye Bweyogerera agamba nti okukwata bano bagoberedde simu zebabade bakuba okuva e Luzira nga bwebasaba ensimbi
Bano babade batambulira mu Taxi number UBB 274M, wabula nga abaana bano babasanze mu mbeera nungi.