Skip to content Skip to footer

Abaana bakayanira mulambo gwa nyabwe

Bya Ivan Ssenabulya

Waliwo abaana abatabuse ne kkojjaabwe, abamubanja omulambo gwa maama wabwe.

Bano bawakanya nyabwe, okuzikibwa ebukojja waabwe, nga kati ensonga bazitutte mu kooti.

Omugenzi Justine Nabatanzi owemyaka 70, omutuuze we Kibiri kulwe Busabala, yafa ku Lwokutaano wiiki ewedde, wabula ab’oluganda lwe bajja okutwala omulambo, abaana nebagaana.

Abaana bagamba nti, bano baali tebafaayo ku maama waabwe, nga bebuuza oba bagala bafu.

Kati kooti, eragidde omulambo gijira gukumibwa mu gwanika e Kawolo, okutuusa ku Lw’okubiri olujja, ensonga lwezinalamulwa.

Enjuuyi zombi, babadde bategese okuziika.

Leave a comment

0.0/5