Bya samuel ssebuliba.
Mu district ye Kapchorwa Police ekutte abayizi b’esomero 2 nga bano balangibwa gw’akusobya ku mwana atanetuuka.
Abaana abakwatidwa ,omu wa S.4 nga wa myaka 18, songa omulala wa S.2 nga wa myaka 17
Ayogerera Police yeeno Rogers Tayitika agamba nti byebakazuula biraga nti buno obwana bwasobya ku kawala ak’emyaka 15 gyoka bweyali katambula mubudde bw’ekiro nga kava okuziika.
Abaana abakwatiddwa batuuze mu gombolola ye Kaptanya mu Kapchorwa district.