Skip to content Skip to footer

Kattikiro ayambalidde abe Kayunga -bamala obudde mu bitagasa.

Bya Eria Lugenda

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze okwemalira ku bintu ebirimu omulamwa ogwokukulanya abantu okulaba nga bava mu bwavu mu kifo kyokumalira ebiseera ku buntu obutono obutagasa.

Owembuga bino abyogeredde Gayaza mu distrct ye Kayunga oluvanyuma lw’okulambula omusiri gwemwanyi ogw’omwami Birali Katabilina ogutudde ku yiika ezisoba mu 14.

Kattikiro ali Kayunga gyagenze okulambula abantu ba ssbasajja nomulanga okwenyigira mu kulima emwanyi.

Kinajjukirwa nti wabaddewo okusika omugwa wakati wa Buganda ne Ssabanyala Baker Kimeze ku kukyala kwa kattikiro kuno.

Ye omwami wa Kabaka owe ssaza, Mugerere James Ssempiga  agambye nti Bugerere lyerimu ku masaza mu Buganda agaali gasinga okulima emwanyi, wabulanga kyenyamiza okulaba nti abamu bazivaako dda.

Leave a comment

0.0/5