Skip to content Skip to footer

Abasawo batabukidde minisita-bagaanye okudda ku mirimo.

Bya Ndaye Moses.

Abasowo abali mu kwekalakaasa batabukidde minister akola ku by’obulamu Dr Jane Ruth Acheng nga bagamba nti  yeefudde kafulu mu kubayisaamu amaaso.

Bano leero bawayizaamu n’akakiiko akaatekedwawo okukola ku nsoga zaabwe nga katuulako  ba minista ab’enjawulo.

Bano ekibajje mu mbeera ye minisita Jane Ruth Acheng okubagamba nti baasalawo okwelakaasa nga bawagirwa ekibiina ekya Uganda medical Association ekitali mu mateeka, kale nga bwagwana bade ku mirimo gyabwe.

Kati kino kitanudde abasawo nebagamba nti abakulu bano bagwana bakome okubatwala nga aboogera ne bataami baabwe

Yye akulira ekibiina kino Dr Ekwaro Ebuku agambye nti eby’okutisatiisa abasawo government egwana esooke ebiveeko kubanga tebigenda kubajja ku mulwamwa.

Leave a comment

0.0/5