Skip to content Skip to footer

Ababadde basomera e Kenya babagaanye

Bya Musasi waffe

Abayizi bann-Uganda abali mu 500 ababadde basla ensalo okugenda ku mulirwano e Kenya, okusoma baganiddwa.

Ekiragiro kino kiyisiddwa omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Busia John Achila, nga kitukiddwako mu lukiiko lwabalwanyisa ssenyiga omukambwe olwatudde.

Achila, agambye nti kino kiri mu kiragiro kyomukulembeze we’gwanga okukugira entambula okusobola okutangira okusasaana kwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Kati kino kirese abayizi bangi mu kusoberwa naddala abali mu bibiina bya nasale ngeno gyebabadde bagenda okusoma oluvanyuma lwokusoma kwa wano okugoaana olwekitrwadde kya ssenyiga omukambwe.

 

Leave a comment

0.0/5