Skip to content Skip to footer

Eddagala erigema ligenda kutuuka

Bya Musasi Waffe

Uganda olwaleero egenda kufuna eddgala eddagala erikozesebwa okugema ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Omugatte eddagala, doozi emitwalo 17 mu 5,200 erya AstraZeneca lyerigenda okutuuka mu gwanga, wansi wnetekateeka yobuyambi eya Covax okuva ku kitebbe kya Bufalansa.

Kino kikakasiddwa abakungu okuva mu minisitule yebyobulamu nabe’kitongole kya Unicef mu Uganda.

Omwogezi wa minisitule yebyobulamu, Emmanuel Ayinebyoona, yayise ku twitter ku Bbalaza nkakasa ngeddagla lino bwerigenda okutuuka olwaleero.

Ate Catherine Ntabadde, akulira ebyamwulire ku Unicef mu Uganda agambye ni eddaala wetwogerera nga liri mu kkubo.

Eddagala eryasooka lyali doozi emitwalo 96 mu 4,000 nga lyatuuka wano mu March womwaka guno.

Kati omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitul eyebyobulamu Dr Diana Atwine agambye nti gavumenti eri mu ntekateeka okuyita mu nkwatagana nabakola eddagala lino, oulaba nga bafuna eddagala eddala.

Leave a comment

0.0/5