
Waliwo ekibinja ky’abalimi abaddukidde mu kkooti nga bawakanya ebbago ly’etteeka erisaawo abantu ssekinoomu abagenda okukuuma ensigo z’embala.
Abalimi bano bawagiddwa ebibiina by’obwanakyeewa ebigambi nti ensigo z’embala tezirina kussibwaako lukomera lwonna.
Omukungu okuva mu kibiina kya Food Rights Alliance Gonzanga Mbalangu agamba nti kino kikyaamu kubanga kijja kusiba abalimi bangi n’okubalemezaako ensigo ezitavaamu makungula gawera
Mbalangu agamba nti abalina ensigo baweebwa obuyinza bungi nti ate nga kinyigiriza abalimi.
Bano era baweze okugenda mu kkooti ya ssemateeka okuwakanya etteeka lino ssinga limala nerisyisibwa.