
Bannakibiina kya NRM abasoba mu 2000 beebakajjayo foomu okwesimbawo ku bifo ebitali bimu
Ku bano 1550 besimbyeewo okukiika mu palamenti , 410 bagaala bifo bya bakyala ate ng aba ssentebe bali 169.
Ssentebe w’akakiiko ka NRM akalondesa Dr Tanga Odoi agambye nti obuwumbi busatu n’ekitundu bwebukunganyiziddwa era nga zakuyamba ekibiina mu kalulu k’omwaka ogujja
Odoi era agambye nti okujjayo foomu eri abesimbyeewo ku bifo ebiri ku ma disitulikiti kwongezeddwaayo okutuuka nga 10 omwezi gw’omunaana