Bya Prossy Kisakye,
Ababaka ba palamenti basabiddwa okufuba okulaba nti embalirira yomwaka gwebyensimbi 2021/22 nga tebanagiyisa essira eritadde ku kyakuyamba muntu wa wansi
Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, bannakyewa okuva mu bibiina okuli CSBAG, FOWODE, CEHURD ne birala bagamba nti ebintu bingi ebitatukanye ebiri mu mbalirira yomwaka gwe byensimbi ogujja eri mu bubage nga tebirina we biyambira muntu wansi.
Emmauel Kashaijja, akulira ebyemirimu gye kikula kyabantu ne byenfuna mu FOWODE anokodeyo ensimbi entono eziweebwa ebyobulamu buli mwaka ngekimu kukivirideko amalwaliro amanene na matono okuba mu mbeera eyenyamiza
Era agambye nti mu mbalirira ya minisitule eye byenjigiriza eri mu bubage ensimbi ezateredwamu okulaba nga kalicculamu empya etekebwa mu nkola ntono nyo songa abaana na basomesa betaaga okuyambibwa okugusa ekirubirirw kya gavt
Mungeri yemu Kashaijja asabye gavt okuteeka ensimbi ezimala eri abalimisa basobole okwanguyirwa okukola emirimu gyabwe na ddala mu byalo