Bya Benjamin Jumbe,
Minisita omubeezi owebyobulamu Joyce kaducu alabudde ku ndwadde ezibarukawo mu biseera byenkuba
Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala Kaducu, agambye nti buli lwetonya endwadde nga omusujja gwe nsiri, ekidukano, kolera ne ndala tezewalika
Kati asabye bannauganda okukakasa nti banywa amazzi amafumbe, bagogola emyala, emmere gye balya efumbiddwa bulungi nokunaaba mungalo buli kadde.
Minisita awabudde okwewala okulya emmere enyogoga nokumala ganywa juyisi wokumakubo
Ono okwogera bino ngendwadde eyekidukano ekendedde mu ggwanga lino okuva ku bitundu 6.4% mu 2017 okudda ku 1%